Isaiah 11:2-4

2 aMwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 bEra n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 cnaye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
Copyright information for LugEEEE